Judges 21:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababenyamiini ne bakola kye baabalagira; buli omu mu Babenyamiini n'agenda ne yeenyagirayo omukazi mu bawala abaali bazina. Ne badda ku busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne babisengamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ababenyamini ne bakola bwe batyo. Ne beewambira abawala ku abo abaali bazina, ne beddirayo mu busika bwabwe, ne baddamu okuzimba ebibuga byabwe ne babeera omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi buli muntu omukazi ku bawala abo abaali bazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali; abo be baanyaga ne baddayo ku butaka bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ababenyamiini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku bawala abaali bazina, ne batwala. Ne baddayo mu kitundu kyabwe, ne bazimba ebibuga ne babeera omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.