Judges 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'Abayisirayeli ne bava eyo mu budde obwo, ne baddayo buli omu mu kika kye ne mu ssiga lye ne ku busika bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo n’abaana ba Isirayiri buli muntu mu kika kye ne yeddirayo mu busika bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ebika ebirala eby'abaana ba Isiraeri ne baddayo buli muntu ku butaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli abalala ne bavaayo, buli omu n'adda mu bantu be, ne mu kibanja kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ne bavaayo mu biro ebyo, buli muntu eri ekika kye n'eri ennyumba ye, ne bavaayo ne bagenda buli muntu mu busika bwe.