Judges 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne banyolwa olwa baganda baabwe ab'omu Benyamiini, ne bagamba nti: “Olwa leero ekika kimu kisaliddwako ku Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne basaalirwa olwa Benyamini muganda waabwe nga bagamba nti, “Leero ekika ekimu ekya Isirayiri kisaliddwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne baakwatibwa ekisa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti, “Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne basaalirwa olwa baganda baabwe Ababenyamiini, ne bagamba nti: “Olwaleero Yisirayeli afiiriddwa ekimu ku Bika bye!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bejjusa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.