Judges 21:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tukole tutya abasigaddewo okubafunira abakazi, anti twalayira dda ffenna ew'Omukama nti tetugenda kubafumbiza bawala baffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tunaabakolera ki okubafunira abakazi, obanga ffe ffennyini twerayiridde eri Mukama obutabawa bawala baffe okubafumbirwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira eri Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja Ababenyamiini abasigaddewo, tunaabalabira tutya abakazi ab'okuwasa, ng'ate twalayirira Mukama obutabawa bawala baffe?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?