Judges 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mawanga Omukama ge yalekawo okugagezesa Abayisirayeli abaali batabaddeeko mu ntalo z'omu Kanaani;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo amawanga Mukama gaatazikiriza asobole okuyigiririzaako Abayisirayiri bonna abataamanya ntalo zonna ez’omu Kanani;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gano ge mawanga Mukama ge yaleka mu nsi, okugezesa Abaisiraeri bonna abataalaba ku ntalo zonna eza Kanani;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama n'aleka ab'amawanga agamu okusigala mu nsi eyo okugeza Abayisirayeli abataalaba ku ntalo z'e Kanaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gano ge mawanga Mukama ge yaleka okukema Isiraeri olw'abo, bonna ku bo abataamanya ntalo zonna eza Kanani;