Judges 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwoyo gw'Omukama ne gumujjako, n'alamula Yisirayeli. Otunyeli bwe yagenda okutabaala, Omukama n'amuwa Kusani-Risatayimu kabaka wa Aramu mu mikono gye, n'amuwangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osunieri n’ajjula Omwoyo wa Mukama n’akulembera Abayisirayiri, n’alumba Kusanurisaseyimu kabaka w’e Mesopotamiya era n’amuwangula kubanga Mukama yamuwaayo mu mikono gya Osunieri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'alamula Isiraeri. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusanurisasaimu, kabaka w'a Mesopotamiya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'akulembera Yisirayeli. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo gwa Mukama ne gumujjira, n'alamula Isiraeri; n'agenda okutabaala, Mukama n'agabula Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya mu mukono gwe: omukono gwe ne guwangula Kusanurisasaimu.