Judges 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ensi n'eweerako okumala emyaka amakumi ana. Otunyeli mutabani wa Kenazi n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne wayitawo emyaka ana ng’Abayisirayiri bali mu mirembe okutuusa ddala Osunieri mutabani wa Kenazi lwe yafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi n'eba n'emirembe okumala emyaka ana (40). Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka amakumi ana. Otiniyeeli n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi n'ewummulira emyaka ana. Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa: