Judges 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne baddamu okweyisa obubi mu maaso g'Omukama. Omukama kwe kuwaayo Yisirayeli mu buyinza bwa Eguloni kabaka wa Mowabu olw'okweyisa obubi mu maaso ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama; kyeyava awa Eguloni kabaka wa Mowaabu amaanyi okubawangula olw’ebibi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama kyeyava awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi n'alwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne baddamu okukola ebibi ne banyiiza Mukama. N'olwekyo Mukama n'awa Egulooni kabaka wa Mowaabu amaanyi okulwanyisa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi okulwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.