Judges 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bawanjagira Omukama, n'abawa omununuzi, Ewudi mutabani wa Gera Omubenyamiini. Yali wa nkonokono. Abayisirayeli ne bamutuma ewa Eguloni abatwalireyo ekirabo kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula ayitibwa Ekudi ow’enkonokono mutabani wa Gera ow’omu kika kya Benyamini; era oyo Abayisirayiri gwe baatuma okutwala ekirabo kyabwe eri Egulooni kabaka wa Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate abaana ba Isiraeri ne baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali ow'enkonokono. Awo abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu okubanunula, ye Ehudi mutabani wa Gera, Omubenyamiini. Ehudi oyo yali wankonokono. Abayisirayeli ne bakwasa Ehudi ebirabo abitwalire Egulooni kabaka wa Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali owa kkono: abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.