Judges 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ewudi ne yeeweeseza empiima ng'esala ku njuyi zombi, nga ya mukono gumu obuwanvu, n'agyesiba ku kisambi ekya ddyo mu ngoye ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekudi ne yeewesezza ekitala ekirina obwogi erudda n’erudda nga kiweza sentimita ana mu ttaano obuwanvu. N’akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ehudi yali yeeweeserezza ekitala eky'obwogi ku njuyi zombi, nga kiweza sentimita ng'amakumi ataano obuwanvu. N'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo, munda mu ngoye ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.