Judges 3:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ye bwe yatuuka ku bifaananyi bya balubaale eby'amayinja, okumpi ne Gilugali, n'afunyamu, n'agamba kabaka nti: “Nnina obubaka bwo, ssebo kabaka, bwa kyama.” Awo kabaka n'alagira nti: “Musirike!” Abaweereza be bonna ne bamuviira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekudi n’akoma awaali amayinja amoole kumpi ne Girugaali n’addayo eri Egulooni n’amugamba nti, “Nnina obubaka obw’ekyama gy’oli.” Kabaka n’agobawo bonna be yali nabo era ne bamuviira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Ekudi kennyini nakoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'addayo eri Eguloni n'amugamba nti, “Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama gyoli Ayi kabaka.” Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “mutuleke fekka!” Bonna ne bava waali ne bafuluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Ehudi kennyini n'akoma ku mayinja amoole agaali okumpi ne Gilugaali, n'addayo eri Egulooni, n'agamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnina obubaka obw'okukuwa mu kyama.” Awo Kabaka n'alagira abaweereza be nti: “Mutuleke ffekka!” Bonna ne bava w'ali ne bafuluma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ye kennyini n'addayo ng'akoma ku mayinja agaali okumpi w'e Girugaali, n'ayogera nti Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama eri ggwe, kabaka. N'ayogera nti Musirike. Bonna abaali bayimiridde naye ne bafuluma ne bamuleka.