Judges 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ewudi n'asembera we yali. Yali yekka ng'atudde mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba ye mw'awummulira. Ewudi n'amugamba nti: “Nnina obubaka bwo obuvudde ewa Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka bwe yali ng’atudde bw’omu mu nnyumba ye, mu kisenge ekya waggulu ekiweweevu, Ekudi n’amusemberera era n’amugamba nti, “Nnina obubaka obuva eri Katonda gy’oli.” Kabaka n’asituka mu ntebe ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ekudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ehudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekudi n'ajja gy'ali; yali atudde omu yekka mu nju ye eya waggulu ey'okuwolawolerangamu. Ekudi n'ayogera nti Nnina ebigambo ebiva eri Katonda gy'oli. N'ayimuka ku ntebe ye.