Judges 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ewudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'asowolayo empiima ku kisambi kye ekya kkono n'agimusogga mu lubuto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekudi n’asowolayo ekitala kye n’omukono ogwa kkono ng’akiggya ku kisambi kye ekya ddyo n’akisogga kabaka mu lubuto;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ehudi n'akozesa omukono gwe ogwa kkono, n'aggyayo ekitala ku kisambi kye ekya ddyo, n'akifumita kabaka mu lubuto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto: