Judges 3:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empiima n'eggweera mu lubuto n'ekiti kyayo kyonna n'efulumira mu mugongo. Amasavu gaagibikkira yonna mu lubuto kubanga teyagisikaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekitala kyonna n’ekiti kyakyo ne kimubuliramu, amasavu ne gakibuutikira era n’atayinza na kukisowolamu. Ebyenda bya kabaka ne biyiika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ekudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ehudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ekiti nakyo ne kibuliramu; amasavu ne gazibikira ekitala we kiyingiridde, kubanga teyasowola kitala mu lubuto lwe, ne kiviiramu nnyuma.