Judges 3:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'amaze okugenda, abaweereza ne badda, ne basanga ng'enzigi z'omu kisenge ekya waggulu nsibe. Ne bagamba nti: “Ndowooza yeewunguddeko munda mu nnyumba ye ey'okuwummuliramu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yali nga yakafuluma abaweereza ba kabaka ne bajja. Bwe baalaba nga enzigi nsibe ne balowooza nti, “Kabaka ateekwa okuba ng’agenze manju.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ekudi bweyagenda, abaddu ba kabaka ne bajja ne balaba ng'ezigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agenda. Abaweereza bwe bajja ne balaba ng'enzigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okufuluma, abaddu be ne bajja; ne balaba, era, laba, enzigi z'enju eya waggulu nga zisibiddwa; ne boogera nti Aliŋŋanga abisse ku bigere bye mu nju ye ey'okuwolawolerangamu.