Judges 3:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga balinze akabanga okutuusa nga basobeddwa, bwe baalaba taggulawo nzigi za kisenge waggulu, ne bakwata ekisumuluzo ne baggulawo. Gye baakuba amaaso, nga ku mukama waabwe, agudde awo ku ttaka, mufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baakoowa okulindirira ne baddira ekisumuluzo ne basumululawo, baagenda okulaba ng’omulambo gwa mukama waabwe gugudde bugazi mu kisenge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe balindako akaseera akaweera ne balaba nga taggulawo, kwe kukwata ekisumuluzo ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balindako ebbanga lye baalowooza nti limala. Bwe baalaba nga taggulawo, ne bakwata ekisumuluzo, ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balindirira okutuusa ensonyi lwe zaabakwata: era, laba, nga taggulawo nzigi za nju eya waggulu; awo ne baddira ekisumuluzo, ne baziggulawo: era, laba, mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.