Judges 3:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatuuka eyo n'afuuwa eŋŋombe mu nsozi za Efurayimu, Abayisirayeli ne bakkirira naye okuva mu nsozi, ye ng'abakulembedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka mu kitundu eky’ensozi ekya Efulayimu n’akiyitamu nga bw’afuuwa ekkondeere, Abayisirayiri ne bamwegattako ye nga abakulembeddemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka mu nsi ya Efulayimu n'afuuwa ekondeere n'akunga Abaisiraeri. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuuka eyo mu nsi ya Efurayimu, n'afuuwa eŋŋombe okuyita Abayisirayeli. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka, bwe yatuuka, n'afuuwa ekkondeere mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, abaana ba Isiraeri ne baserengetera wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi, naye ng'abakulembera.