Judges 3:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti “Mungoberere, kubanga Omukama awaddeyo mu mikono gyammwe Mowabu omulabe wammwe.” Ne bakkirira naye, ne bawamba emisomoko gya Yorudani awasomokerwa okulaga mu Mowabu, nga tebakyaganya muntu n'omu kusomoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Mungoberere kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku balabe bammwe Abamowaabu.” Ne bamugoberera ne bawamba ekifo awasomokerwa ekyali kyolekedde aba Mowaabu ku mugga Yoludaani; Abayisirayiri ne bataganya muntu yenna kusomoka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mungoberere; kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe.” Ne bamugoberera, ne bakwata ekifo Abamowaabu we baali abokusomokera omugga Yoludaani, ne bataganya muntu n'omu okusomoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mungoberere, Mukama abawadde okuwangula abalabe bammwe Abamowaabu.” Ne bagoberera Ehudi, ne baserengeta, ne beekwata ekifo Abamowaabu we baali ab'okusomokera Omugga Yorudaani, ne bataganya muntu n'omu kusomoka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mungoberere: kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe. Ne bamugoberera ne baserengeta, ne beekwata emisomoko gya Yoludaani nga balwana n'Abamowaabu, ne bataganya muntu kusomoka.