Judges 3:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ne bakuba Abamowabu ng'omutwalo mulamba, abasajja nno ab'amaanyi ate abeesobola; mu bonna tewaali yasumattuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batta ku basajja abalwanyi abazira aba Mowaabu mutwalo mulamba; teri n’omu ku bo yasimattuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mulundi ogwo ne batta mu ba Mowaabu abasajja nga omutwalo gumu (10,000), ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mulundi ogwo ne batta mu Bamowaabu abasajja nga omutwalo gumu ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batta ku Mowaabu mu biro ebyo abasajja nga kakumi, buli muntu ow'amaanyi na buli muntu muzira; so tekwawonako muntu.