Judges 3:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Yisirayeli n'atoowaza Mowabu, ensi n'eweerako okumala emyaka kinaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo Abayisirayiri ne bajeemulula Abamowaabu ku lunaku olwo. Okuva ku olwo ensi n’ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Abaisiraeri ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana (80).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo Abayisirayeli ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mowaabu n'ajeemulwa ku lunaku olwo n'omukono gwa Isiraeri: Ensi n'ewummulira emyaka kinaana.