Judges 3:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ewudi yaddirirwa Samugari, mutabani wa Anati, eyakuba Abafilisitiini lukaaga n'omuwunda ogugoba ente. Naye yanunula Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulembeze eyaddira Ekudi mu bigere ye Samugali mutabani wa Anasi era naye yanunula Abayisirayiri. Ye wuuyo eyatta abasajja Abafirisuuti lukaaga nga yeeyambisa omuwunda gwe bagobesa ente nga zirima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulamuzi eyaddirira yali Samugali mutabani wa Anasi. Naye yanunula Isiraeri, bwe yatta Abafirisuuti lukaaga (600), n'omuwunda ogusoya ente era naye n'alokola Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulembeze eyaddirira, yali Samugaari, mutabani wa Anati. Naye yanunula Yisirayeli bwe yatta Abafilistiya lukaaga n'omuwunda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Samugali mutabani wa Anasi n'addirira oyo, n'atta ku Bafirisuuti abasajja lukaaga n'omuwunda ogusoya ente: era naye n'alokola Isiraeri.