Judges 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gaali ga kugezesa Yisirayeli okulaba oba banaawulira ebiragiro Omukama bye yali awadde bajjajjaabwe ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era gaalekebwawo okugezesa Abayisirayiri obanga baligondera amateeka ga Mukama ge yalagira bajjajjaabwe ng’ayita mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baali bakugezesa Abaisiraeri okulaba oba banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe nga ayita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali ba kugeza Bayisirayeli okulaba oba nga banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe, ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era baali ba kukema Isiraeri, okumanya oba nga bagenda okuwulira ebiragiro bya Mukama bye yalagira bajjajjaabwe ku bwa Musa.