Judges 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baawasa bawala baabwe, n'abaabwe ne babafumbiza batabani baabwe, ne baweereza ne balubaale baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bawasanga abawala ab’omu mawanga ago era ne bafumbizanga bawala baabwe eri abalenzi b’omu mawanga ago ne basinzanga ne bakatonda baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga bakatonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga balubaale baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bawasa abawala baabwe okuba abakazi baabwe, ne bawa abawala baabwe bo eri batabani baabwe, ne baweereza bakatonda baabwe.