Judges 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli baakola bubi mu maaso g'Omukama; beerabira Omukama Katonda waabwe ne baweereza Babaali ne Baasera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama, ne beerabira Mukama Katonda waabwe ne basinzanga Babaali ne Baasera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe, ne baaweerezanga Baali ne Asera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne beerabira Mukama, Katonda waabwe, ne bakola ebibi ne bamunyiiza, ne basinza balubaale Baali ne Asera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe; ne baweerezanga Babaali ne Baasera.