Judges 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gya Kasani-Risatayimu, kabaka wa Aramu Nakarayimu. Abayisirayeli ne baweereza buddu Kusani-Risatayimu emyaka munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri, kyeyava abawaayo okuwangulwa n’okufugibwa kabaka Kusanurisasaimu ow’e Mesopotamiya okumala emyaka munaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuukira ku Isiraeri, n'abawaayo eri Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya; abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayeli, n'aleka Kusani Risatayimu, kabaka wa Mesopotaamiya okubawangula, n'abafugira emyaka munaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gwa Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya: abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana,