Judges 3:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Abayisirayeli ne bawanjagira Omukama, Omukama n'ateerawo Abayisirayeli omununuzi eyabanunula, Otunyeli mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama, kyeyava abawa omulwanyi omuzira okubanunula erinnya lye Osunieri azaalibwa Kenezi muto wa Kalebu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi Osunieri mutabani wa Kenazi, oyo ye yali muto wa Kalebu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama, n'abatumira omuntu eyabanunula, ye Otiniyeeli, mutabani wa Kalebu, muto wa Kenazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi abaana ba Isiraeri, eyabalokola, ye Osunieri mutabani wa Kenazi, ye mwanawaabo owa Kalebu.