Judges 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baraki n'akunga Zebuluni ne Nafutali e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera, ne Debora n'agenda naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki n'akunga ab'ekika kya Zebbulooni n'ekya Nafutaali abasajja omutwalo gumu (10,000), ne bamugoberera ne bakuŋŋaanira e Kedesi; ne Debola n'agenda wamu nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baraki n'ayita ab'Ekika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni e Kadesi, abasajja omutwalo gumu, ne bamugoberera. Debora n'agenda wamu naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balaki n'ayita Zebbulooni ne Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi; ne bayambukayo abasajja kakumi nga balinnya mu bigere bye: Debola n'ayambukira wamu naye.