Judges 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Keberi Omukeni yali ayawukanye ku banne bwe bava mu Kayini, ne ku bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa, ng'asimbye weema ye ku muti omunene ogw'e Zaanannimu ekiri mu Kedesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keberi Omukeeni yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo, Keberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, abaana ba Kobabu kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu, okumpi ne Kedesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Heberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, bazzukulu ba Hobabu, kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omuvule mu Zenannimu, okumpi n'e Kadesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Keberi Omukeeni yali ayawukanye n'Abakeeni, be baana ba Kobabu mukoddomi wa Musa, n'azimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi.