Judges 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'akuŋŋaanya ebigaali bye byonna olwenda eby'ekyuma, n'abantu be bonna okuva e Karoseti-Aggoyimu bagende ku Kiwonvu Kisoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda (900), n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna olwenda ag'ebyuma, ne basajja be bonna abaali naye, ne bava e Haroseti-Hagoyiimu, ne balaga ku Mugga Kisoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda, n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni.