Judges 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Debora awo n'agamba Baraki nti: “Situka olumbe, kubanga olwa leero Omukama lw'akuwadde Sisera mu mikono gyo. Omukama si y'akukulembeddemu?” Baraki n'akkirira okuva ku lusozi Tabori n'abasajja omutwalo gumu nga bamugoberera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Debola n’agamba Baraki nti, “ Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Debola n'agamba Balaki nti, “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Balaki n'akkirira olusozi Taboli wamu ne basajja be omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Debora n'agamba Baraki nti: “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Baraki n'akkirira olusozi Tabori wamu ne basajja be omutwalo gumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Debola n'agamba Balaki nti Golokoka; kubanga leero Mukama lw'agabudde Sisera mu mukono gwo: Mukama takukulembedde okutabaala? Awo Balaki n'ava ku lusozi Taboli, abasajja kakumi ne bamugoberera.