Judges 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baraki bwe yalumba, Omukama n'atta n'obwogi bw'ekitala Sisera, eggye lye lyonna n'ebigaali bye byonna. Sisera n'abuuka ku kigaali kye n'addukira ku bigere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'eby'okulwanyisa, mu maaso ga Balaki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna, n'eggye lye lyonna n'ebyokulwanyisa, mu maaso ga Baraki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'obwogi bw'ekitala mu maaso ga Balaki; Sisera n'ava mu ggaali lye, n'adduka n'ebigere.