Judges 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baraki n'agoba ebigaali n'eggye okutuukira ddala e Karoseti-Aggoyimu. Eggye lya Sisera lyonna ne littibwa n'ekitala; tewaali yawonawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki n'awondera amagaali n'eggye lya Sisera okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga; eggye lya Sisera lyonna nerisanyizibwawo, newatasigala muntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baraki n'awondera amagaali era n'eggye okutuuka mu Aroseti ekya Bannamawanga. Eggye lya Sisera lyonna ne littibwa. Ne watasigalawo muntu n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Balaki n'agoberera amagaali n'eggye okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga: n'eggye lya Sisera lyonna obwogi bw'ekitala ne bulimalawo, tewaasigala muntu.