Judges 4:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba Yayeli nti: “Mpaayo ku tuzzi, ennyonta ennuma.” Yayeli n'asumulula endyanga y'amata n'amuwa n'anywa, n'addamu okumubikkako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe; kubanga ennyonta ennuma.” N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n'amubikkako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sisera n'amugamba nti: “Nkwegayiridde, mpa ku mazzi nnyweko, kubanga ennyonta ennuma.” Yayeli n'asumulula ensawo ey'eddiba omubeera amata, n'amuwa n'anywa, n'amukweka nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe, kubanga ennyonta ennuma. N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n’amubikkako.