Judges 4:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sisera n'amugamba nti: “Yimirira awo mu mulyango gwa weema, bwe wajjawo abuuza nti: ‘Muno mulimu omuntu?’ mugambe nti: ‘Nedda.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti, ‘Omusajja yenna ali muno?’ naawe onooyogera nti Nedda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sisera n'agamba Yayeli nti: “Yimirira mu mulyango gwa weema. Bwe wabaawo ajja n'akubuuza nti waliwo omusajja ali muno ogamba nti: ‘Nedda.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti Omusajja yenna ali muno? naawe onooyogera nti Nedda.