Judges 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Yayeli muka Keberi n'akwata enkondo ya weema, n'abaka n'ennyondo, n'asooba n'agenda we yali nga yeebase olw'obukoowu, n'amukomerera enkondo mu luba n'emuyitamu n'egukka mu ttaka, n'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yayeeri muka Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sisera yali akooye nnyo, ne yeebaka otulo tungi. Awo Yayeli n'akwata enkondo ya weema n'ennyondo, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi n'eyitamu n'ekwata n'ettaka. Bw'atyo Sisera n'afa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yayeeri mukazi wa Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n’ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.