Judges 4:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baraki naye n'atuuka ng'anoonya Sisera. Yayeli n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti: “Jjangu nkulage omuntu gw'onoonya.” N'ayingira naye. Gye yakuba amaaso, nga ku Sisera agalamidde awo mufu, ng'enkondo ya weema emuyise mu luba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balaki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Balaki n'ayingira ne Yayeeri, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baraki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeli n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti: “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Baraki n'ayingira ne Yayeli, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, Balaki ng'agoberera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti jjangu, nange n'akulaga omusajja gw'onoonya. N'ajja gy'ali; era, laba, Sisera yali agalamidde afudde, n'enkondo ng'eri mu kyenyi kye.