Judges 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ba Yisirayeli ne balaajanira Omukama, kubanga Eguloni yalina ebigaali eby'ekyuma lwenda ate ng'abatulugunyizza n'amaanyi okumala emyaka amakumi abiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabini yalina amagaali lwenda (900), ag'ebyuma, n'afuga Isiraeri n'obukambwe okumala emyaka abiri (20). Abaisiraeri ne bakaabirira Mukama abayambe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yabini yalina amagaali lwenda ag'ebyuma, n'afuga Yisirayeli n'obukambwe okumala emyaka amakumi abiri. Abayisirayeli ne bakaabirira Mukama abayambe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama: kubanga yali alina amagaali ag'ekyuma lwenda; n'ajoogera nnyo abaana ba Isiraeri emyaka abiri.