Judges 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatuulanga wansi w'Olukindu lwa Debora, wakati wa Rama ne Beteli mu nsozi za Efurayimu. Awo abantu we bajjanga okubasalirawo ensonga zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola olwali wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi; eyo abaana ba Isiraeri gye bagenda nga okubasalira emisango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yatuulanga wansi w'Olukindu lwa Debora, wakati wa Raama ne Beteli, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. Eyo Abayisirayeli gye baagendanga gy'ali okubasalira emisango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi: abaana ba Isiraeri ne bambukanga gy'ali okubasaliranga emisango.