Judges 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatumya Baraki mutabani wa Abinowamu ow'e Kedesi mu Nafutali, n'amugamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli si yalagidde? Genda okunge abasajja lukumi okuva mu bantu ba Nafutali ne mu bantu ba Zebuluni ogende nabo ku lusozi Tabori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “ Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atumya Balaki mutabani wa Abinoamu mu kibuga Kedesu eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, akulagidde nti, ‘Twala abasajja omutwalo gumu (10,000), ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Taboli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atumya Baraki mutabani wa Abinowamu mu Kibuga Kedesi eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli akulagidde nti: ‘Twala abasajja omutwalo gumu ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Tabori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma n'ayita Balaki, mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesunafutaali, n'amugamba nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, talagidde nti Genda mukuŋŋaanire eri olusozi Taboli, otwale naawe abasajja kakumi ku baana ba Nafutaali ne ku baana ba Zebbulooni?