Judges 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Debora n'amuddamu nti: “Kale nzija kugenda naawe; naye manya nti ku lutalo luno lw'ogendako anaafuna ettendo taabe ggwe, kubanga omukazi Omukama gw'anaawa okuwangula Sisera.” Debora n'asitula n'agenda ne Baraki e Kedesi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Debola n'amugamba, “Mazima ndigenda naawe, naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekiriba kikyo, kubanga Mukama aligabula Sisera mu mukono gw'omukazi.” Awo Debola n'asituka, n'agenda ne Balaki e Kedesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Debora n'addamu nti: “Mazima nja kugenda naawe. Naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekijja kuba kikyo, kubanga Mukama ajja kuwaayo Sisera awangulwe omukazi.” Awo Debora n'asituka, n'agenda ne Baraki e Kadesi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Mazima ndigenda naawe: naye olugendo lw'ogenda teruliba lwa kitiibwa kyo; kubanga Mukama alitunda Sisera mu mukono gw'omukazi: Debola n'agolokoka n'agenda ne Balaki e Kedesi.