Judges 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amaloboozi g'abalasi b'obusaale abatudde ku kyesero; batontoma ebikolwa by'Omukama ebituukirivu, ebikolwa by'abafuga Yisirayeli eby'obutuukirivu. “Olwo eggye ly'Omukama ne likkirira ku miryango gy'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wulira oluyimba lw’abantu ku luzzi, nga batendereza obuwanguzi era n’ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu, ebikolwa bye eby’obutuukirivu nga akulembera Abayisirayiri. “Awo abantu ba Mukama ne baserengeta, ne bagenda ku miryango gy’ebibuga byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulirize eddoboozi ly'abayimbi abali ku nzizi za mazzi, Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abaisiraeri. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulirize eddoboozi ly'abali ku nzizi z'amazzi! Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abayisirayeli. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eddoboozi ly'abo abalasa obusaale nga libali wala, mu bifo mwe basenera amazzi, Eyo gye balyatulira ebikolwa bya Mukama eby'obutuukirivu, Ebikolwa bye eby'obutuukirivu ng'afugira mu Isiraeri. Abantu ba Mukama ne balyoka baserengeta ne bagenda ku miryango.