Judges 5:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baava mu Efurayimu ne bakkirira mu kiwonvu; Benyamiini ng'akuva mabega n'abantu bo. Abagabe baava mu Makiri ne bakkirira, ne mu Zebuluni abo abakutte omuggo gw'obuduumizi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaava mu kitundu kya Efulayimu ne baserengeta mu kiwonvu, nga bakugoberera ggwe, Benyamini, n’ab’ekika kyo. Mu Makiri ne wavaayo abakulembeze, ne baserengeta, ne mu kitundu kya Zebbulooni ne wavaayo abaduumizi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu Efulayimu n'evaayo abasibuka mu Amaleki; nga bakugoberera ggwe Benyamini ne baganda bo. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate okuva Zebbulooni n'evaayo abakungu abakwata omuggo gw'oyo asimbisa ennyiriri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Efurayimu n'evaayo abasibuka mu Ameleki ne bagoberera ab'omu Kika kya Benyamiini. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate n'e Zebbulooni n'evaayo abakungu abasimbisa ennyiriri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu Efulayimu ne muva abo abalina ekikolo kyabwe mu Amaleki; Nga bakugoberera ggwe, Benyamini, mu bika byo; Mu Makiri (ne muva) abafuga ne baserengeta, Ne mu Zebbulooni abo abakwata omuggo gw'oyo asimba ennyiriri.