Judges 5:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abalangira ba Yissakari baali ne Debora, ye Yissakari yali ne Baraki, n'amukkiriza mu kiwonvu. “Mu kika kya Rubeni mwalimu okwerowooza nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; era Isakaali yali wamu ne Baraki. Ne bafubutuka okumugoberera mu kiwonvu. Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abakulembeze ba Isakaali ne bajja ne Debola; nga bali bumu ne Balaki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'ekika kya Lewubeeni baateesa ne batasalawo oba nga banaagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakulembeze ba Yissakaari ne bajja ne Debora nga bali bumu ne Baraki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'omu Kika kya Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalangira ba Isakaali baali wamu ne Debola; Nga Isakaali bwe yali, ne Balaki bwe yali bw'atyo; Baafubutuka mu kiwonvu (nga balinnya) mu bigere bye. Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu.