Judges 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki ggwe wasigala mu bisibo, okuwuliriza abafuuyira amagana emirere? Mu kika kya Rubeni mwalimu okwerowooza ennyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiki ekyakusigaza mu bisibo byo eby’endiga, okuwuliriza endere zebafuuyira endiga? Olw’enjawukana ezaali mu kika kya Lewubeeni, waaliwo okusooka okufumiitiriza ennyo mu mitima gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baasigalira ki mu bisibo by'endiga, okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Mu bitundu bya Lewubeeni waliwo okwenoonya okukulu okw'omu mutima, ne batasalawo oba nga banaagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baasigalira ki mu bisibo by'endiga okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Aba Rewubeeni beesalamu ne badda mu kwebuuzaganya, ne batasalawo oba nga banaagenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki ekyakutuuza mu bisibo byo eby'endiga, Okuwulira endere ze bafuuyira ebisibo? Awali enzizi za Lewubeeni Waabaawo okuteesa kw'emitima okukulu.