Judges 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gileyaadi yasigala mitala wa Yorudani. Ate Daani, lwaki yasigala ku byombo? Aseeri yasigala ku lubalama nga yeewummulidde mu myalo gye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ekika kya Gireyaadi baasigala mitala wa Yoludaani. N’ab’ekika kya Ddaani ekyabasigaza mu byombo kiki? Ab’ekika kya Aseri; baasigala ku lubalama lw’ennyanja, ne babeera awali emyalo gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yoludaani. Ab'omu Kika kya Ddaani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yorudaani. Ab'omu Kika kya Daani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gireyaadi yabeera emitala wa Yoludaani: Ne Ddaani ekyamusigaza mu byombo kiki? Aseri n'atuula ng'asirika ku mwalo gw'ennyanja, N'abeera awali ebikono bye.