Judges 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu ba Zebuluni baawaayo obulamu bwabwe, ne Nafutali bwe yakola, gy'ali waggulu ku nsozi z'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’ekika kya Zebbulooni baawaayo obulamu bwabwe, era n’ab’ekika kya Nafutaali mu ddwaniro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zebbulooni be bantu abawaayo obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali n'alwanira mu bifo eby'ensozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Zebbulooni n'ab'omu Kika kya Nafutaali be baaguma ne beewaayo okufiira mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zebbulooni be bantu abaagabula obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali, mu bifo ebigulumivu eby'olutalo.