Judges 5:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bakabaka ne bajja, ne balwana; bakabaka b'e Kanaani baalwanira e Taanaki ku Mazzi g'e Megiddo, naye tebaatwala munyago gwa ffeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ku mugga gw’e Megiddo mu Taanaki, bakabaka bajja ne balwana, bakabaka b’e Kanani baalwana. Naye tebaanyaga bintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabaka balwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanani balwana, ne batafuna munyago gwa feeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabaka baalwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanaani baalwana, ne batafuna munyago gwa nsimbi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabaka bajja ne balwana; Awo nga lwe baalwana bakabaka ba Kanani, Mu Taanaki ku mazzi ga Megiddo: Tebaagoba magoba ga bintu.