Judges 5:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayima mu ddirisa n'atunula wansi; Nnyina Sisera n'ayisa mu katimba n'aleekaana: ‘Lwaki ekigaali kye kiruddeyo? Lwaki emisinde gy'ekigaali kye gikeereye?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nnyina wa Sisera yalingiriza mu ddirisa; yayisa amaaso mu ddirisa, n’aleekaanira waggulu nti ‘Kiki ekirwisizza eggaali lye okujja? Okuguluba kw’eggaali lye nga sikuwulira?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnyina Sisera yalingiza mu ddirisa n'ayogerera waggulu, Nti ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Kiki ekirwisizza eggaali lye okudda
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyina Sisera yalingiriza ng'atunuulira mu ddirisa, n'asitula eddoboozi n'abuuza nti: “Embalaasi ze ekizikeereyezza kiki? Lwaki amagaali ge galuddewo okudda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ddirisa yatunuulira n'ayogerera waggulu, Nnyina Sisera yayogerera waggulu mu ddirisa Nti Ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Ebisinde by'eggaali lye ekibirabiriza kiki?