Judges 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muwulire, bakabaka, mutege amatu, mmwe abakungu; nze, nzija kuyimbira Omukama, nnaamutendereza mu nnyimba Katonda wa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muwulirize mmwe bakabaka, musseeyo omwoyo mmwe abalangira; nze kennyini, nze nnaayimbira Mukama; nze nnaayimbira Katonda w’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, nnaayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulire mmwe bakabaka, mutege amatu mmwe abafuzi: nze nnyimbira Mukama Katonda wa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, naayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri.