Judges 5:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kati tebakuŋŋaanya na kugabana munyago? Buli mutabaazi omwandu gwe: omuwala omu oba babiri; omunyago gwa Sisera ze ngoye eza langi entobeke, ogwange: kitambaala ekya langi entobeke, oba bibiri olw'obulago bwange.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Tebazudde omunyago era tebali mu kugugabana, omuwala omu oba babiri buli musajja? Sisera tufunye omunyago ogw’engoye enduke ez’amabala? Eminagiro ebiri emiruke, egy’amabala tegiibe gyange?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebaluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane? Buli musajja omuwala omu oba babiri; Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Baluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane: buli musajja omuwala omu oba babiri. Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tebalabye munyago, tebagugerese? Buli musajja omuwala, abawala babiri; Sisera omunyago ogw'amabala amangi, Omunyago ogw'amabala amangi amadalize, Amabala amangi amadalize eruuyi n'eruuyi, ku nsingo z'omunyago?